Ensambaggere n’okukubagana okw’amaanyi ku luseewo mu kkooti e Nakawa enkya ya leero nga 23 May,2025 nga beetegekera okuwulira emisango emiggya egivunaanibwa Dr. Kizza Besigye, Obeid Lutale ne Kapiteeni Denis Oola.
Akavuyo kavudde ku munnabyabufuzi Ingrid Turinawe bw’abadde yekwata ku katambi wamu n’abawagizi ba Dr. Besigye abalala ababadde mu kkooti.
Abateeberezebwa okuba abakuuma ddembe ababadde bambadde engoye ezabulijjo baanyiize, ne batwala essimu ya Ingrid, ngabamulanga okubakwatira mu katambi ke.
Wano abawagizi ba Dr Kizza Besigye ababadde mu kkooti babalumbye babaggyeko essiimu ya Ingrid, awo ensambaggere n’ebikonde nebimyooka okukakana bangi bakoseddwa.
Omuwagizi w’ekisinde kya PFF, Paul Kisule, alabiddwaki ng’avaamu omusaayi mu kamwa.
Oluvannyuma abakuuma ddembe baayodde abantu bonna abeetabye ku kavuvuηano kano nebabafulumya mu kkooti .
Ingrid Turinawe avumiridde okutulugunyizibwa okubakoleddwako abakuuma ddembe b’eggwanga, mu kifo mwebabadde basuubira okufuna obukuumi n’obwenkanya.
Besigye ne banne, abamaze ennaku ezisukka mu 180 mu kkomera e Luzira, l basuubira okutegeezebwa okunoonyereza wekutuuse ku misango egibavunaanibwa.#