
Democratic Republic of Congo olwa leero mu butongole ewaddeyo ebintu byonna ebyetaagisa okufuuka memba omujjuvu mu mukago gwa East Africa.
Ebintu bino ebiwaddeyo ku kitebe ky’omukago mu kibuga Arusha ekya Tanzania.
Mu mwezi ogwokuna omwaka guno, eggwanga DRC yaateeka omukono ku ndagaano eyagikkiriza okwegatta ku mukago gwa East African community.
Wabula parliament ya DR Congo n’ebitongole byayo ebirala byalina okusooka okwetegereza n’okuyisa emisoso gyonna egikwataka ku ndagaano n’amateeka agafuga omukago guno.
Omukago guno ogwa East Africa gulina amateeka agagufuga omuli eby’obusuubuzi, entambula za bannansi bannamukago, saako endagaano eyawamu efuga omukago guno.

Parliament z’eggwanga eryagala okwegatta ku mukago gabeera galina okusooka, okuyisa ekiteeso eky’okugoberera amateega ago gonna.
DRC oluvannyuma lwókwegatta ku mukago mu bujjuvu ,egyakuba esobola okufuna ababaka ba parliament 9 abagikiikirira mu parliament y’omukago eya East African Legislative Assembly.
Okulonda kwa parliament eno kwakubaayo ku nkomerero y’omwezi oguzza ogwa August, era DRC esuubirwa okuweereza ababaka, n’okulonda minister w’ensonga z’omukago.
DR congo okwegatta ku mukago gwa East African community, kuwezezza omuwendo gwámawanga 7 agakola omukago guno okuli Uganda, Kenya, Rwanda, Burundi , South Sudan ne Tanzania
Omukago gwa East Africa kati gugatta okuva ku ssemayanja owa India Ocean negukoona ku ssemayanja Pacific Ocean.
Omuwendo gwabannansi mu mukago guno nagwo gulinnye gusoba mu bukadde 300, oluvanyuma lwa DRC okwegatta ku mukago.