Eyaliko president wa Democratic Party Dr.Paul Kawanga Ssemogerere avudde mu bulamu bwensi eno.
Dr. Paul Kawanga Ssemogerere afiiridde ku myaka egy’obukulu 90.
Yazaalibwa nga 11 February 1932.
Afiiridde mu maka ge agasangibwa e Kabuusu mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, era nga yoomu ku bamubadde ku lusegere, agambye nti Dr.Paul Kawanga Ssemogerere alumbiddwa ekirwadde mu lubuto, oluvannyuma naatandika okutanaka gy’ayitidde naafa.