Omubaka wa president mu district ye Mityana Afrikano Aharikundira aweze okutunda obwennyanja obuto okwetoloola obutale bwonna obuli mu district ye Mityana.
Mu kiwandiiko RDC Afrikano kyaweerezza abasuubuzi abalabudde nti singa omusuubuzi oba omuvubi osangibwa n’obwennyanja obuto bwakuboyebwa ne nnyini bwo wakusibira mu kadduukulu.
Abamu ku basuubuzi b’ebyennyanja abasangiddwa mu katale ka Mityana Central okubadde madina Nakandi, Ahanifa Kintu, ne mama maddie, mu kwogerako ne CBS bagambye nti ekyokuwera obwenyanja n’okukwata ababitunda sikyabwekanya nti wabula bakwate basuubuzi.
Bisakiddwa : Alice Naggirinya