Eyaliko omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes omukwasi wa goolo, Dennis Masinde Onyango, alondeddwa ng’omukwasi wa goolo esinze mu myaka 10 egiyise, n’ssibwa ku ttiimu y’empaka za CAF Champions League.
Ttiimu eyabazannyi 11, eriko abazannyi abasinze okukola obulungi mu mpaka za CAF Champions League wakati wa 2010 okutuuka 2020, era okulonda kuno kukoleddwa abawagizi nga bayita ku mitimbagano gya CAF egyenjawulo.
Dennis Masinde Onyango mu myaka egyo 10 ejjukirwa nnyo okuyambako club ye eya Mamelodi Sundowns okuwangula ekikopo kya CAF Champions League mu 2016, era kyekisinze okumuweesa obubonero obungi.
Onyango era omwaka gwe gumu yalondebwa nga omukwasi wa goolo eyasinga ku semazinga Africa.
Mu kitundu kino ekya East Africa muvuddemu abazannyi 2 bokka, nga omulala ye Mbwana Sematta munnansi wa Tanzania, nga mu myaka egisoba mu 5 gye yazannyira club ya TP Mazembe eya DR Congo, naye yabayamba okuwangula empaka za CAF Champions League.
Abazannyi abasinga ku ttiimu ya CAF eyemyaka 10 erondeddwa, bava mu kitundu ekya North Africa, okuli Wael Gomma, Ahmed Fatty, Hossam Ghaly, Hossam Ashour, Ali Maaloul ne Walid Soliman.
Munnansi wa Zambabwe Khama Billiat, munnansi wa South Africa Percy Tau ne munnansi wa Zambia Stopilla Sunzu nabo balondeddwa ku ttiimu eno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe