Abayizi 193 batikiddwa mu masomo g’ebyemikono ku ttendekero lya Datamine Technical Business School e Wandegeya.



Gano ge matikkira géttendekero lino agéomulundi ogwa omwenda.



Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathius Mpuuga Nsamba akubirizza abatikkiddwa okufaayo okubeera abayiiya okwongereza ku bibayigiriziddwa mu masomero yonna gyebayise.
Mpuuga agambye nti buli muntu yandifuddeyo okubaako omulimu gwébyemikono gwayiga.
Omukungu Micheal Kawooya Mwebe ssentebe wólukiiko olukulira ettendekero lino, era akulira CBS FM akubirizza abatikkiddwa okussa ekitiibwa mu bantu bebagenda okuweererezaamu.
Silver Dronyi Academic Registrar Datamine Technical business Institute agambye nti amasomo agasomesebwa mu ttendekero lino gatadde essira kukusomesa abayizi nga besigama ku nkyukakyuka yénsi nga bweri, naddala enkola za technologia eyeyongedde okuyiiyizibwa.
Ebifaananyi: Musa Kirumira