COVID 19 ASSE BATAANO LEERO

Ministry y'eby'obulamu egamba nti banna Uganda abalala 5 bafudde ekirwadde kya Covid 19 olwaleero nga kaakano abakafa baweze 3,285.

Alipoota ku kirwadde kino ey'olwaleero eraze nti abantu abalala 907 bazuliddwamu ekirwadde nga bano beebamu ku bantu 5,349 abakebereddwa eggulo.

Obulwadde olwaleero busaasanidde ku bitundu 17% ssonga abantu abakyali mu malwaliro ku bitanda bali 69 okuva ku bantu 85 bwegwabadde eggulo. Omuwendo gwabaakeberebwa nebazuulibwamu covid 19 omugatte baweze emitwalo 135,998.

Ministry y'eby'obulamu egamba nti banna Uganda abalala 98,321 bebakajjanjabibwa nebawona nga abakagemebwa bayingidde obukadde 11, 377,067.