
Eyaliko ssenkulu wa kampuni ya Uganda airlines Cornwell Muleya, abuulidde akakiiko ka parliament aka COSASE nti ssenkulu aliwo mu kiseera kino Jennifer Bamutulaki yoomu ku baamugobesa ku bukulu obwo olw’okubalemesa okwenyigira mu bulyake.
Jenniffer Bamuturaki yali director wabakitunzi mu kampuni eyo bweyali etandikibwa mu 2019.
Cornwell Muleya abuulidde akakiiko nti Jenneffer Bamuturaki oluvanyuma lw’emyezi 7, yazuulibwa nti yali afiiriza kampuni olw’engeri gyeyakolangamu emirimu,saako obutaba nabisaanyizo bibeera director wabakitunzi.

Cornwell muleya alumirizza Bamuturaki nti yali yawa contract eri kampuni gyalinako obwannanyini eya Abavata okukwasaganya ebyamawulire nookulanga Uganda airlines.
Agambye nti kampuni ya Abavata era gyeyakozesa okuttatana ekifaananyi kya Uganda Airlines n’ebigendererwa bye eby’okugobya Cornwell Muleya nebanne, bwebaali baddukanya kampuni eno
Cornwell Muleya nga munnansi wa Zambia yali yayitibwa government yakuno okuva e Nigeria gyeyali okuggya kuno olwobukugu bweyalina mu byennyonyi.

Abuulidde akakiiiko ka Cosase nti enkola ye ey’emirimu eyobweerufu nookulwanyisa ebikolwa byobulyi bw’enguzi nookubba ensimbi za kampuni eno, abakozi bangi baamulwanyisa era okukakana nga bamugobezza ku mulimu.
Awadde eky’okulabirako nti Jenniffer Bamuturaki yaliko ensimbi zeyali agemulidde kampuni ya Abavata, nga zino yali aziduumudde okuva ku bukadde 648 okutuuka ku kawumbi 1 nekitundu ,wabula nti zino Cornwell Muleya naazirinyako eggere, ekyavaako obutakanaya nokumulwanyisa.
Muleya annyonyodde nti mu kiseera weyagobebwa mu kampuni eno ku account zaayo yalekako obukadde bwa dollah $30m.
Era nga webaamugoberera yali asasulwa omusaala gwa bukadde 126, okuva ku bukadde 74.3 bweyali asasulwa kampuni nga yakatandika.
Muleya agambye nti yewuunya nnyo nti abaali bagobeddwa mu kampuni mu kiseera kyeyabeerera ssenkulu olwobulyake n’okuddibaga emirimu gya kampuni, ate bebali mu kuddukanya kampuni eno mu kiseera kino.
Cornwell Muleya agambye nti ekyasinga okumuluma ze alipoota zeyakolanga zeyaweerezanga eri abakulu okuli n’omukulembeze weggwanga ,wabula ate zaagwanga mu mikono gy’abantu abalala, abaazikozesanga okumulwaana okutuusa lwebaamufulumya kampuni ya Uganda Airlines.