
Uganda ewangudde omudaali gwa zaabu era ogusoose mu mpaka za Commonwealth Games eziyindira e Birmingham Bungereza.
Victor Kiplangat yawangulidde Uganda omudaali mu misinde egy’okwetoloola ebyalo.
Victor Kiplangat emisinde gino agiddukidde esaawa 2 n’edakiika 10 ne seconds 55.
Alfred Simbu munnansi wa Tanzania yawangudde omudaali gwa feeza, addukidde essaawa 2:12:29.
Micheal Githae munnansi wa Kenya yaakutte ekifo eky’okusatu addukiddewo 2:13:16.