
Empaka za Commonwealth Games ez’omwaka guno, zigiddwako akawuuwo olwaleero mu kibuga Birmingham ekya Bungereza.
Amawanga 72 gegavuganya mu mpaka zino nga ziyindira mu kisaawe kya Alexander Stadium.
Emizannyo gino gigenda kutandika n’emikolo emitongole egigenda okuggulawo empaka zino, abazannyi 5,054 bebagenda okuzetabamu nga bakuvuganya mu mizannyo 20.
Empaka zino za mulundi gwa 22 nga zitegekebwa okuva lwe zatandika mu 1930.
Guno omulundi gwa kusatu nga Bungereza etegeka empaka zino, nga yasooka mu 1934 mu kibuga London ne 2002 mu kibuga Manchester ne 2022 mu Birmingham.

Uganda yaweerezza abazannyi 80 abagenda omuvuganya mu mizannyo 11.
Uganda erina abaddusi 18, abawuzi 4, para Swimming 1, abavuzi b’obugaali 2, Squash 2, Badminton 8, ekigwo 2, abasituzi b’obuzito 3, Table Tennis 4, ebikonde 6, emisinde 18, Rugby 14 n’okubaka 12.
Bukyanga empaka zino zitandika, Australia yekyasinza okuwangula emidaali emingi giri 2,415, Bungereza yakubiri n’emidaali 2,144, Canada yakusatu n’emidaali 1,555, India yakuna n’emidaali 503 n’abalala ne bagoberera.
Empaka eziddako mu 2026 zakubeera mu Australia.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe