Akulira oludda oluvuganya government mu Parliament era omubaka wa Nnyendo Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba asabye bannadiini mu nzikiriza ezikuza Ssekukkulu, boogere kaati ku bikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebifumbekedde mu ggwanga ensangi zino.
Mu bubaka bwe obwa Ssekukkulu, Mpuuga agambye nti awandiikidde abakulembeze b’amasinzizo gonna babeegatteko bavumirire ebikolwa bino byagambye nti bisinze kuwagirwa government ya NRM.
“twetaaga eddoboozi eryawamu eririmu ekinyusi kyabannansi okuvumirira ebikolwa bya government eno, oba olyawo eneddako neddiza bannansi eddembe ery’ obwebange”
Kino wekijjidde ng’okwogerezeganya kwabakulu, akulira oludda oluvuganya ne Ssaabaminista Robina Nabbanja ku nsonga za banna Uganda abazze babuzibwawo ziringa ezaagaana okuvaamu ebibala, oluvannyuma lwa government butabaako kyenyega n’okutuusa kati.
“Tulina ebikumi n’ebikumi byabassaalumanya abavundira mu buduukulu n’amakomera eby’enjawulo, songa n’abalala nkumu tebamanyiddwako gyebali”
Ku kiwandiiko kino Mpuuga ataddeko n’olukalala lw’abantu 25 bebagamba nti baabuzibwawo ab’ebyokwerinda.
Asabye bannaddiini okukozesa okusinza kwa Ssekukkulu eno basitule eddoboozi ery’omwanguka, era basabire n’eggwanga essaala ey’enjawulo Katonda addiremu Uganda.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo