Ssenkulu wa Radio ya CBS omukungu Michael Kawooya Mwebe akubirizza abawuliriza ba CBS okunyiikira okukuuma obutonde bw’ensi n’okuweerera abaana.
Bibadde mu bubaka bwe obumusomeddwa avunanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu CBS Joan Nabagesera, ku mukolo gw’eebiibina bya cbs fans club ogubadde e Nsonga mu Kyaggwe.
Omukungu Kawooya Mwebe ategezezza nti okuzaawo obutonde bwensi kyekimu kubigenda okutaasa egwanga Uganda, mu ngeeri yemu ajukiza abantu okukuuma obuwangwa bwabwe.
Bannabiniina era besimbye emiti ng’emu ku nteekateeka y’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Ate ye omwami we ssaza Kyaggwe Ssekiboobo Ssalongo Elijah Bogere mu bubaka bwatisse omumyuka w’omwami w’egombolola ye Nakisunga mutuba gumu ,asabye abantu ba Kabaka okujumbira okulima emmere okwegobako enjala n’obwavu.
Eyaliko ssentebe w’akabondo k’ababaka ba parliament abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyonga, yebazizza radio ya cbs olwokulungamya bannauganda nga tesosoddemu bwatyo nagisaba okwongera okukuuma omutindo.
Ssennyonga awaddeyo ensimbi akakadde ka shs kamu eri ekibiina Kya Nsonga cbs fans club.


Abakozi ku CBS bazannye omupiira ogw’omukwano n’ebibiina by’abawuliriza ba CBS (CBS fans Club), mu nteekateeka y’okutumbula obumu.
Abakozi ba CBS bawangudde abawuliriza ku goolo 2 – 1.
Omukolo guno gutegekeddwa abawuliriza abegattira mu kibiina kya Nsonga fans club ekisangibwa mu ssaza Kyaggwe.
Ebibiina ebyetabye ku mukolo guno bisoose kwolesa ebitundu byebikola, omuli ebijimusa,ebirime,ssabbuuni w’amazzi, obuwunga n’ebintu ebirala bingi.
Omukwanaganya w’ebibiina bya CBS fans Club Omuk.Godfrey Male Busuulwa, yebazizza bannabibiina okutambulira awamu okutuukiriza ekiragiro ky’Omutanda eky’emu ku nsonga ssemasonga y’Obwakabaka ey’okubeera Obumu.
Ssentebe wa CBS fans Club mu ggwanga Omutaka Ssemafumu Kaggwa naye akaatiriza nti ng’oggyeko ebibiina bino okubakumakuma nti naye bibayambye n’okukyusa embeera zabwe n’okwekulakulanya.
Ssentebe yebazizza bannakibiina kya Nsonga fans Club bagambye nti balaze omutindo mu byonna byebakola.
Omukolo guno gwetabyeko ebibiina bya CBS fans club ebisobye mu 15 okuva e Kajjansi,Lugazi, Kawuku, Buwaya, Seguku, Bwaise ,Bweyogerere ne Bukasa Asante saana Nakifuma n’ebirala.
Bisakiddwa : Ssebuliba Julius
Ebifaananyi: Musa Kirumira