
CBS radio eri mu kibuga Masaka n’abaweereza baayo ab’enjawulo nga bagaba ebirabo (ekikapu) n’okuwa omukisa abawuliriza baayo okulaanga business zabwe ku bwereere.
Enteekateeka eno egendereddwamu okuddiza ku bawuliriza ba CBS n’abagigoberera ku mikutu gyayo egiri ku mitimbagano okuli www.cbsfm.ug, cbsfm official ku Youtube, cbsfm ku tiktok, cbsfm ku Instagram, cbs emmanduso ku facebook, ne cbsfm ku facebook ne cbsfm ku twitter.
Ezimu ku Program zookumpewo ku CBS Emmanduso ziweerezeddwa butereevu nga basinziira Masaka, baatandise ne program ya Mukeeze.
Patricko Mujuuka Promotions manager y’akulembeddemu enteekateeka eno.
Wagenda kubeerawo Omupiira wakati w’abakozi ba CBS n’abasuubuuzi b’e Masaka mu kisaawe kya Recreation grounds.
Akawungeezi ekibanyi kigwe n’amenvu ku Chouma’s lounge, ng’abawagizi b’emizannyo babbinkana mu Bingwa wa Mabingwa.