Abantu 63 basimattuse okufiira mu kabenje ka mmotoka akagudde ku kyalo Wabigalo mu gombolola ye Wabinyonyi mu district ye Nakasongola.
Bus mwebabadde basaabalira namba UBF 618T Isuzu eya kampuni ya Nile Star bwetomedde Fuso namba UAK 475A ebadde esimbiddwa ku kkubo ng’edda Kampala.
Mu kabenje Kano omuntu omu alumiziddwa nnyo.
Akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 12 nga bukya oluvannyuma lwa Bus ebadde eva mu kibuga Arua ng’eyolekera Kampala okutomera Fuso ebadde esimbye ku mabbali g’oluguudo.
Ayogerera poliisi y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima, agambye ntu batandise okuyigga dereeva wa Bus ekoze akabenje kano, songa n’omuntu akoseddwa addusiddwa mu ddwaliro lya St Francisc hospital .