
Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, balonze omuteebi wa ttiimu y’essaza Buddu ne ssetendekero wa St Lawrence University, Bunyaga Bruno, ng’omuzannyi asinze okucanga endiba omwezi oguwedde ogwa september.
Bunyaga Bruno omwezi gwa september yateebedde ttiimu y’essaza Buddu goolo 3 mu mpaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere, era n’ayamba ne Buddu okutuuka ku mutendera gwa semifinal.
Bunyaga era yateebedde St Lawrence University goolo 3 mu mpaka za University Football League.

Okutuuka ku buwanguzi buno Bunyaga Bruno amezze abazannyi okubadde Blancher Mulamba owa ttiimu y’essaza Gomba ne Ambrose Kigozi owa ttiimu ya Sand Cranes ey’omupiira ogwa beach Soccer.
Oluvanyuma lw’obuwanguzi buno, Bunyaga Bruno, akinoganyiza nti agenda kukola obuteebalira okuyamba Buddu okuwangula empaka z’amasaza ez’omwaka guno ne St Lawrence University okuwangula empaka z’omwaka guno.
Jacob Kiplimo yawangudde mu muzannyo gw’emisinde era amezze Abel Chebet ne Andrew Kwemoi.
Mu muzannyo gw’ensero, omuzannyi wa JKL Lady Dolphins Brenda Ekone yawangudde, nga amezze Tony Drilleba owa City Oilers ne Aerial Okall owa Namuwongo Blazers.
Mu muzannyo gwa Cricket, Ali Raizat yawangudde olw’okuyambako Cricket Cranes okuwangula empaka za Africa T20 Cup ezabadde e South Africa era amezze Juma Miyagi ne Patricia Timong.
Ate mu Uganda Premier League omupiira oguzanyidwa olwaleero, Bright Stars eremaganye ne Maroons nga mpaawo alabye katimba ka munne mu kisaawe e Kavumba.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe