Okuva edda nga wano mu Buganda abantu balima Ppamba okwefunira ensimbi .
Ekirime kya ppamba kyalinga kya ttunzi anti ebintu bingi ebiva mu kulima ppamba.
Mwalingamu engoye za Jinja ezaakolerwanga e Jinja mu kkolero eryayitibwanga NYTIL ( Nyanza Textile Industry Limited) ng’engoye zino zaayambalwanga abaana mu masomero.

Waalingawo ekkolero eddala e Kawempe erya Rayon nga nalyo likola ku ngoye.
Mwavangamu butto mu nsigo za Ppamba.
Muvaamu ssabbuuni.
Muvaamu wuzi ezitunga engoye.
Muvaamu ppamba akozesebwa mu malwaliro.
Muvaamu emmere y’ebisolo.
Muvaamu ebintu nkumu.
Enteekateeka z’okuttukiza okulima ppamba mu Buganda awomeddwamu omutwe ekitongole kya CBS PEWOSA NGO, ng’ekulembeddwamu Owek. Kaddu Kiberu.

Abalimi abalimi abatandise okukungula ppamba wabwe atandise okumubagulako.
Omulimu guno agutandikidde mu Ssaza lya Ssaabasajja Mawokota, mu gombolola ye Buwama, Nkozi ne Kituntu.
Abalimi baaweebwa ensigo , eddagala, ensimbi enkalu okubasobozesa okusasula abakozi.
Abalimi abaasooka okumulima batandise okukungula wamu nookwenogera ensimbi.
Nga ppamba ono akulira ku myezi 5 gokka.
Basimba wakati w’omwezi gwa August ne september oba February ne march.
Bwayatika nga atuuse okunoga tayagala nkuba kuba afa.
Ppamba omulonde obulungi ayitibwa safi kyokka omubi ayitibwa ffiifi oba kafiifi mu lulimi olulimi lwa ppamba.
Ppamba bwamala okunogebwa emiti kwabala gikuulibwa ne gyokebwa okwewala obuwuka, olwo omulimi ne yeetegekera sizoni eddako.
Edda waalingawo ekitongole kya Lint Marketing board nga kyekivunaanyizibwa ku kutunda ppamba, era nga bbo abalimi baamutwalanga ku byuma ebisunsula ppamba.
Ebyuma ebisunsula kati ebikyaliwo kwe kuli Lira spinning mill, Iganga n’ebirala.
Ppamba mu Uganda asinga kulimwa mu bitundu bya bukiika kkon ne mu buvanjuba bwa Uganda ne Busoga.
Bikunganyiziddwa: Godfrey Male Busuulwa