
Ttiimu y’essaza Buddu etandise nabuwanguzi ku mutendera gwa semifayinaali mu mpaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere bw’ekubye Bulemeezi goolo 1-0.
Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzanyiddwa mu kisaawe kya Masaka Recreation Grounds wakati munamungi womuntu eyeyiye mu kisaawe kino.

Goolo ewadde Buddu obuwanguzi eteebeddwa muyizzi tasubwa wabwe Bunyaga Bruno mu kitundu eky’okubiri.
Omupiira guno era gwetabiddwako minster w’ebyemizannyo abavubuka n’okwewumuzamu mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, Pookino Jude Muleke, mukwenda eyawumula Ssalongo Godfrey Mbalire nabantu abalala bangi.
Omupiira omulala oguzanyidwa, Ssingo eremaganye ne Busiro goolo 3-3 mu kisaawe kya Mityana Ssaza Grounds.
Ttiimu zonna zigenda kuddingana ku Sunday ejja nga 16 okufunako ttiimu 2 ezigenda ku luzannya olwakamalirizo.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe