President Yoweri Museveni awagidde ebitongole bya government ebiyisa olugaayu mu bimu ku biragiro bya kkooti, agambye nti biyisibwa mu butali bwesimbu.
Museveni abadde ku kitebe ky’essiga eddamuzi,ku mukolo gwokujjukira eyali Ssabalamuzi eyasooka Benendicto Kiwanuka.
Kigambibwa nti Benedicto Kiwanuka e
yasikambulwa okuva mu kkooti ku mulembe gwa Iddi Amin nábuziibwawo.
Yabula nga 21 September, 1972.m kati emyaka 50 egiyise talabikanga.
President wekibiina ekitaba Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society eyakalondebwa munnamateeka Bernard Oundo, yasoose okuloopera president Yoweri Tibuhaburwa Museveni nti ebitongole bye ebya government nokusingira ddala ebyebyokwerinda byebisinze okutattana okwetengerera kw’ekitongole ekiramuzi, nga biyisa amaaso mu biragiro bya kkooti.
President Museven mu kwanukula ku nsonga eyo agambye nti ebiragiro ebimu ebiyisibwa kkooti bya kiboggwe nnyo,nga kyekireetera ebitongole bino okubinyoomoola.
Awadde eky’okulabirako ekya kooti okukkiriza Nnyinittaka omu okusengula abantu abasoba mu 1000, n’abaleka okubundabunda.

Sabalamuzi Alphonse Owinyi Dollo asinzidde ku mukolo guno nategeeza nti Ben Kiwanuka yattibwa olwokutaasa okwetengerera kw’ekitongole ekiramuzi, era nategeeza nti kino kisaanye okuwa ekyokuyiga eri governmwnt yómulembe guno.
Minisita wénsonga za ssemateeka Norbert Mao asabye amasiga ga government 3 okuli Parliament essiga eddamuzi, nékitongole ekifuzi oba Executive okukolaganira awamu okuzza ekitiibwa kyago ekisanyeewo mu bantu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam