
Ekibiina ekigatta bannamateeka mu Uganda ki Uganda Law society kironze munnamateeka Benard Oundo okuba president wa bannamateeka mu Uganda okumala emyaka ebiri, oluvannyuma lw’ekisanja kya Fiona Woll okuggwako.
Benard Oundo awangulidde ku bululu 1056 addiriddwa Diana Ninsiima Kibuuka n’Obululu 723, Diana Angwech 151, Chemusto Suaib 133, Olivia Kyarimpa a 52, Mukuwe Mugagga K 15.
Okulonda kuno okubumbujjidde ku Imperial Resort Beach e Ntebbe.
Mubaddemu nookugaba ebirabo ebyokusiima bannamateeka ababadde ku lukiiko olukadde , abaweerezza obulungi eggwanga n’ekibiina kyabwe.
Mu bamu ku baweereddwa ebirabo mubaddemu Fiona Woll Nabaasa president awummudde, Diana Angwech abadde omumyuka wa president, abadde omuwandiisi w’Olukiiko Ritah Namakiika Nangono, abadde omuwanika Shane Gloria Mugenga, n’abakiikirira amabendobendo agenjawulo ku lukiiko oluwummuze.
President Benard Oundo agenze okulondebwa ng’era ye president w’ekibiina ekigatta bannamateeka mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Africa.