Ebintu bya bukadde na bukadde bitokomokedde mu muliro ogukutte amaduuka agawerako mu kitundu ky’e Myanzi mu district ye Kassanda.
Abamu ku basuubuzi abagiiriddwa emmaali yabwe bagamba nti omuliro gwandiba nga gwavudde ku sigiri ezisiika chapati, nti nga ziyinza okuba zaasigaddeko omuliro abantu bwebaabadde bapapa okweyuna essaawa za kafiyu.
District ye Kassanda ne Mubende ziri ku muggalo gwa nnaku 21 olw’ekirwadde kya ebola, gwakatambulako ennaku 13.
President Museven yalagira abantu okuwera ssaawa emu nga buli omu ali munju ye, teri kidduka kikkirizibwa kutambula, ebifo ebisantukirwamu,ebbaala, saloon n’amasinzo gaggalwa.
Bisakiddwa: Ssebuufu Baanabakintu