Abawanguzi b’empaka za CBS Bbingwa 2022 bakwasiddwa ebirabo byabwe, ku kitebe kya CBS ku Masengere.
Nnantongo Rose omuwanguzi wa Bbingwa 2022 aweereddwa Piki piki kapyata UFS 470N.
Pikipikii eno emukwasiddwa akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS Omuk. Hajji Abby Mukiibii Nkaaga ne kavu wa nsimbi emitwalo 500,000/=, egyamuweebwa omubaka wa Kalungu West Hon Joseph Gozanga Ssewungu ng’entandikwa y’amafuta ga pikipiki.
Eyakwata eky’okubiri Ntege Salim aweereddwa ensimbi 1,500,000/=, era n’aweebwa n’emitwalo 300,000 okuva ew’omubaka Ssewungu.
Fadala Ibrahim aweereddwa 1,000,000/=, Kawooya Shafik emitwalo 300,000/= ne Kawooya Steven emitwalo 200,000/=.
Abaawangula Bbingwa Extra, aba Team Nakaseke baweereddwa ensimbi akakadde 1000,000/=, Team Cardiff abakwata ekyokubiri baweereddwa ensimbi emitwalo 750,000/=.
Hajji Mukiibi yeebazizza abawanguzi bano olwokwewaayo era n’asiima nnyo abavujjirizi olw’okuwagira Bbingwa.
Bbingwa wa Mabbingwa owa 2022, Nantongo Rose yeebazizza nnyo CBS olwokuteekawo omukisa guno naye mwafunidde entandikwa y’okukyusa obulamu bwe.
Nantongo awadde bakyala banne amagezi okweggyamu okutya, nti kubanga naye yavuganya n’abasajja teyabatya era n’abamegga.