Abakristu ba St. Balikuddembe Buloba Catholic Parish bajaguzza olunaku lw’amaka n’obufumbo mwebaddiddemu okukuba ebiragaano by’okunyweza omukwano gwabwe ng’abafumbo.
Batandise n’ekitambiro ky’Emmisa ekulembeddwamu omukwananya w’okuyitibwa okwenjawulo mu Ssaza ekkulu ery’e Kampala Rev Fr. Dr. Joseph Sseruga, ng’ayambibwako akulira ekitongole ky’obafumbo mu kigo ky’e Buloba Rev Fr. Edward Bwanika.

Rev Fr. Dr. Sseruga asabye abafumbo okusoosowaza omukwano gwabwe, n’okunywerera ku biragaano byebaakuba bwebaali bagattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Wakati mu Kitambiro kya Mmisa abafumbo okubadde ne muweereza munnaffe ku CBS Bakulumpagi Jackson (Dr Kwefu) mu lujjudde lw’ekibiina ekikungaanye bazzeemu okulagaana okunywerera awamu okutuusa okufa.
Abafumbo ba Parish eno eye Buloba bakulembeddwa ba Ssaabafumbo nebannaabafumbo okuva mu bisomesa byonna ebikola ekigo ekyo.
Ku bisomesa kuliko; Bulenga Kikaaya, Bwotansimbi, Bukasa-Bukulu, Ssumbwe, Kalambi, Nakabugo ne St. Kizito.
Nnaabafumbo wa Parish Annett Sseruuma Katende agambye nti olunaku luno balukuza buli mwaka, okwezza obuggya n’okusikiriza abakyali mu bufumbo obw’ensonga okufuna ekinyegenyege nabo okwetwalira obufumbo obutukuvu.
Oluvannyuma basaze kkeeki eyabaweereddwa omu ku bannaabwe owa Anns Investment e Bulenga.