Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ki Uganda water and sanitation Network kulaze nti bannayuganda obukadde 20 tebasobola kufuna mazzi mayonjo, olw’ebifo mwegasibuka okusanyizibwawo.
Alipoota era yalaze nti abantu obukadde munaana n’omusobyo bakyeyambira mu nsiko , nga kino kivudde ku bulagajjavu bw’abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, obutateekawo bibonerezo bimala eri abantu abanafu abasaasanya obubi.
Ebifo omuli entobazzi, ebisenyi, enzizi ezensulo n’emigga wamu n’ennyanja bitataaganyiziddwa, ng’antu babisima okuzimbamu zi kabuyonjo, ezibbomoka zezifulumya kazambi agwera mu mazzi.
Ku mikolo gy’okukuza emyaka 20 ekitongole ki Uganda water and sanitation Network kwekijagulizza okuweza emyaka 20 mu Uganda, ssenkulu wakyo Unia Musaazi asabye government ezebitundu okuvaayo n’ebibonerezo ebikakali eri abatalina kabuyonjo, kiyambeko mu kulwanyisa okusasaana kw’endwadde.
Ssentebe w’Olukiiko oluddukanya ekitongole ki Uganda Water and Sanitation Network Jane Nabunya Mulumba alabudde nti awatali kuggya bantu mu ntobazzi, okusimba ebibira ebinavaamu enkuba n’Okusomesa abantu ku nsonga zino tewali kigenda kutuukibwako.
Commissioner mu ministry y’amazzi n’obutondebw’ensi Joseph Epitu agambye nti government amaanyi ekyagatadde ku kubunyisa amazzi ag’emidumu ne taapu mu bitundu by’ebyalo.
Asabye bannansi okukwata obulungi ebibaweereddwa okufuna amazzi amayonjo, n’okulonkoma abantu abefunyiridde okwonoona obutonde nebakomekkereza ng’abantu bonna bakoseddwa.