BannaUganda ababeera mu Los Angeles mu America basabidde eyali munnakatemba omugunduuvu omugenzi Omugave Ndugwa Joseph Ssemakula.
Omugave Ndugwa yali mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu ssaza ly’e Califonia mu America.
Omugave Ndugwa y’eyatandikawo ekibiina kya katemba ki Black pearls ne Riverside theatre.
Bannabyamizannyo bangi abagundiivu wano mu Uganda baayita mikono gyómugave Ndugwa
BannaUganda mu Los Angeles bamutenderezza olwókubakumakuuma, bweyali akyali mulamu.
Bamwogeddeko ngómuntu abadde ayagaliza era omusomesa omulungi.
Omugave Ndugwa yava mu bulamu bwénsi eno, ku ntandikwa yómwezi oguyise ogwa June.