Emirimu gy’akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte akanonyereza ku bikolwa ebyokulinnyirira eddembe lyobuntu mu Uganda n’amawanga amalala akatuula mu kibuga Geneva ekya Switzerland gisanyaladdemu okumala akabanga ,bannauganda abawangaalira mu ggwanga eryo bwebesozze olutuula lwako nga tebaayitiddwa.
Bannauganda babadde bakutte ebipande ebiriko ebifaanyi byabantu abagambibwa nti baattibwa ,abamu batulugunyizibwa songa n’abalala babuuzibwawo ebitongole bya government yakuno.
Babadde balumiriza ssaabawolereza wa government ya Uganda Kiryoowa Kiwanuka nti okubeera omulimba ,nti bweyabuulidde akakiiko kano nti government ye terinyirira ddembe lyabannansi era nti abo abalirinyirira ebakangavvula.
Ennaku zino Kiryoowa Kiwanuka ali mu kakiiko ako ,anyonyola ku bikwata ku alipoota zokulinyirira eddembe ly’obuntu mu Uganda ezizze zikolebwa ekibiina ky’amawanga amagatte.
Kiryowa Kiwanuka mu kulabikako eri akakiiko Kano yasoose ku kaategeeza nti government yakuno terinyirira ddembe lyabannansi ,era terina safe houses omutulugunyizibwa abantu era nti ababatulugunya bavunaanibwa.
Wabula yabadde tanamalayo byanyonyola bannauganda ababadde basitudde ebipande nebessoga ekisenge omubadde olutuula luno ,nebalumiriza ssaabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka okubeera omulimba ow’ebbaluwa.
Akakiiko Kano kawaliriziddwa okugyako emizindaalo okukakanya embeera, era oluvannyuma lw’akaseera bannayuganda bano bawerekeddwako abebyokwerinda nebabafulumya.
Kiryowa Kiwanuka agenze mu maaso nannyonyola akakiiko nti waliwo abantu abakangavvuddwa olw’okutulugunya abantu, era nga waliwo abazze baliyirirwa olw’okulinnyirirwa eddembe lyabwe.#