Waliwo ekibinja kyabannauganda abawangaalira mu ggwanga lya United Arab Emirates abeekozeemu omulimu nebakyalirako ku bannabwe abali eyo, abakuumibwa mu bifo by’abagwira abatalina mirimu.
Bannauganda abakunukkiriza mu 700 okuli abasajja n’abakazi government ya United Arab Emirates yabaggya ku nguudo z’ebibuga ebiwerako kwebaali bawangaalira, oluvanyuma lwokubulwa emirimu songa n’ensimbi ezibakkomyaawo kuno zabaabula.
Bakuumirwa mu kifo Kya Al wasarn mu kibuga Dubai.
Bannayuganda abeekozeemu omulimu nebakyalira ku bantu abo ,bakulembeddwamu Jamirah Namutamba omu ku bakulembeze b’abawagizi b’ekibiina Kya National unity Platform abawangaalira mu united Arab Emirates.
Baliko ebintu byebabatwalidde ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Mu ngeri yeemu ekibiina Kya National unity Platform kyatandiika ku nteekateeka ey’okukungaanya ensimbi okukola ku nteekateeka y’okukomyawo kuno bannauganda bano ,era enteekateeka eno cbs radio eno ekitegeddeko nti etambula bulungi
Kiteberezebwa nti bannauganda abasoba mu 3000 ensi beyakwatira munsi z’Abawarabu abamu basula ku nguudo, abalala bakuumibwa mu biyumba abalala baggalibwa mu makomera olw’ensonga ezitali zimu.
Bannauganda bano nga bonna bavubuka bali mu Dubai, Qatar, Oman, Abbu Dhabi ne Jordan.
Minister wa Uganda ow’ensonga z’amawanga g’ebweru Henry Okello Oryem abawadde amagezi okuddukiranga ku bitebe bya Uganda babasalire amagezi.
Alabudde abagenda ebweru nti bateekeddwa okukimanya nti kibakakatako okwesasulira ticket ezibaza ekka, n’okukomya okwesuulirayo ogwaggamba nebagenda mu nsi eyo, nga tebayise mu mateeka.
Mu kiseera kino abawala n’abavubuka bangi abeyunira okugenda munsi ezo, nga nabamu ensimbi ezibatwala babeera bazewoze bwewozi, abalala babeera batunze bintu bya bakadde babwe omuli n’ettaka, bwebatukeeyo emirimu negibula.
Waliwo n’abakozi abamu abafuna emirimu nga baatwalibwa kampuni, wabula.oluvannyuma lw’ekiseera kampuni ezibeera zaabatwala endagaano zaazo neziyimirizibwa neziba nga tezikyalina mirimu.
Omubaka wa kyadondo East era minister ow’esonga z’ebweru kuludda oluwabula government Nkunyingi Muwada, agugumbudde abakulu mu government bave mu kuliisa ebijanjaalo empiso nga banansi bayisibwa nga eky’okuttale wabula bayambibwe okuddizibwa ku butaka.
Muwada ategezezza nti ezimu ku kampuni ezitwala abantu ebweru government yennyini yeziwa olukusa nga basanye okulabira ku mawanga nga Kenya ne Ghana agaamaze dda okugyayo bannansi baago.
Muwada era agambye nti government yassa omukuno kundagaano ekwata kubakozi naye nga ekyelemye okugitekesa mu nkola okutaasa banna Uganda.
Gyebuvudeko United Arab Emirates yisizza ekiragiro nga kikugira munna Ugand yenna ataweza bukadde bw’ensimbi za Uganda 5 ku Account, okuyingira mu gwanga eyo.