Police ye Kyengera eri ku muyiggo gw’abatemu abayingiridde bannansi b’eggwanga lya Uruguay babiri nebabatematema ebijambiya, babalese bataawa.
Obutemu buno bubadde Nakasozi Buddo.
Abagwira bano baliko Loogi emu mwebabadde basula nga bakamalamu wiiki bbiri, era nga baba bakumala omwezi mulamba mu Uganda.
Kigambibwa nti babadde balina ensimbi, ng’abatemu bandiba nga zebaabadde baggiridde.
nga mu Uganda babadde bakubabasanze mu Loogi emu mwebabadde bakamala sabiiti biri nga mu Uganda babadde bakumalamu omwei mulamba ,naye nga kigambibwa nti babadde basula n’omudidi gwensimbi mu Loogi eno
Police eriko omuwala gwekutte abadde azze mu Loogi eno,nga abajikolamu balumiriza nti yoomu kubabadde bakyalira abasajja bano buli kawungeezi,nga yandiba nga amanyi ku lukwe lw’abatemu.
Meeya wa Kyengera Town Council Mathius Mulumba Walukagga agambye nti baguddemu entiisa y’amanyi mu kitundu, era bagala police enonyereze ezuule abatemu bano nga tebanatuusa bulabe ku bantu balala.
Mayor Walukagga annyonyodde nti omusirikale eyabadde akuuma ku mulyango gwa Loogi eno yasoose kuwambibwa batemu nebamusiba akandooya, olwo nebesogga Loogi nebanyagulula abantu bano n’okubatematema.
Walukagga mu ngeri yemu alabudde banna Kyengera ku butemu obweyongedde mu Kampala n’emiriraano, nti kiti buli muntu alina okuba obulindaala n’okutemya ku boobuyinza singa babeerako gwebekengedde.
Luke Owesigire amyuka omwogezi wa Police mu Kmpala n’emiraano agambye nti bakyalinze okunonyereza okuva mu bakugu babwe abali e Kyengera, balyoke bafukumye alipoota.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif