Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannamawulire amagezi baleme kwesigama ku mulimu gumu ogw’okusaka amawulire gwokka, wabula banonyeeyo ebintu ebirala byebasobola okukola okufunamu ensimbi okwekulaakulanya.
‘Atega ogumu – taliira’
Katikkiro abadde asisinkanyemu bannamawulire abasaka agafa embuga, ng’ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mengo.

Abeebazizza olw’obuweereza naddala obw’okutuusa eddoboozi lya Buganda ku bantu ba Kabaka yonna gyebali nga bayita mu mawulire.
Abasabye okwongera okubeera aboobuvunaanyizibwa mu mpeereza zabwe, beewale amawulire agacamuukiriza abantu n’obulimba.
Mu ngeri yeemu Kamalabyonna asabye government eyongere amaanyi mu kuwa ekitiibwa eddembe ly’obuntu naddala erya bannamawulire, basobole bulungi okuweereza eggwanga nga tebataataaganyiziddwa.
Minisiter w’amawulire era omwogezi wa Buganda Owek Noah Kiyimba agambye nti omulimu bannamawulire gwebakola guyamba kinene nnyo mu kusitula embeera z’abantu ba Kabaka mu byobulamu, ebyenjigiriza ebyenfuna n’enkulaakulana.
Bannamawulire beeyanzizza nnyo ettu eribawereddwa nebasuubiza bulujjo okuweereza Kabaka waabwe mu ttuluba ly’amawulire agali ku mutindo omutali kyekubiira.

Bannamawulire abagasaka e Mengo buli nkomerero y’omwaka basisinkana Katikkiro nebabaako ensonga zeboogerako, omufundikira omwaka omukadde n’okuteekateeka engeri y’okukolamu emirimu mu mwaka omuggya.
Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Katikkiro abagabudde ettu lya ssekukkulu n’okubaagaliza omwaka omuggya.#