
Abaana abawala abavuganga mu mpaka z’obwanalulunji bw’eby’obulambuzi mu Buganda batandise okulambula eby’obulambuzi byonna ebiri mu masaza ga Buganda.
Batandikidde mu ssaza Bugerere ku biyiriro ebisangibwa e Kalagala mu gombolola Musaale Kangulumira.
Enteekateka eno ewomeddwamu omutwe ekitongole ekivunanyizibwa ku by’obulambuzi n’obuwangwa mu Bwakabaka bwa Buganda.
Kitunzi w’ekitongole kino Kawuma Joseph abawala bano bakwongera okutegera ebirungi eby’obulambuzi ebiri mu Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu,mu kawefube w’okwongera okusikiriza abantu okulambula ensi yabwe.
Nalulungi w’eby’obulambuzi mu Buganda wakulondebwa nga 02 September,2022 ku mukolo ogusuubirwa okubeera mu Bulange e Mengo.