Banna Butambala bawaddeyo unit z’omusaayi 4,678, zebagabye mu nnaku ttaano enteekateeka eno gyemaze ng’eyindira mu ssaza Butambala.
Super Supreme Mufut wa Uganda Sheikh Muhammad Shaban Ggalabuzi y’abadde omugenyi omukulu ku lunaku olugaddewo okugaba omusaayi mu Butambala, mu gombolola ya Ssaabaddu Kibibi.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Butambala Katambala Haji Sulaiman Magala yeebazizza nnyo banna Butambala okujjumbira okugaba omusaayi era naasaba abaami b’amagombolola okugenda mu maaso n’emirimu gya Beene awatali kukoowa.

Ssenkulu wa Kabaka Foundation abakulembeddemu okukungaanya omusaayi Omukungu Eddward Kaggwa Ndagala, yeebazizza obukulembeze bw’essaza Butambala olwobumu obwoleseddwa mu kutaakiriza abantu ba Beene abetaaga omusaayi n’obuweereza obulala.

Sarah Mutegombwa nga yakiikiridde ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross wamu ne Uganda blood Transfusion services ebiwomye omutwe mu kukungaanya omusaayi,agambye nti tebagenda kukoowa kuweereza bantu ba Buganda ne Uganda, okutuusa nga ebbula ly’Omusaayi lifuuse lufumo.
Enteekateeka eno ewagiddwa Kabaka Foundation, CBS fm, BBS Terefayina, Uganda Red Cross society n’abavujjirizi abalala.
Bisakiddwa: Nakato Janefer