Banabibiina bya CBS PEWOSA n’abantu abalala mu Ssaza Mawokota mu Gombolola Sabawaali Nkozi ku kyalo Nabusanke, babanguddwa ku ngeri m
Siriimu gy’asaasaanamu n’egeri gyebasobola okuyitamu okumwewala.
Dr Fiona Kalinda omukugu ku nsoga z’ekirwadde kya Sirimu, y’abadde omusomesa omukulu.

Akubirizza abantu bonna okujumbira okwekebeza okumanya bwebayimiridde ku kawuka ka siriimu, okusobola okutuukiriza ekiragiro kya Kabaka eky’o kugoba obulwadde bwa siriimu mu Uganda omwaka gwa 2030 wegunaatuukira.
Nakkazi Futumah abasomesezza okwewala obusambattuko mu maka, nti kubanga kye kimu ku biviirako siriimu okusaasaana, n’okuzingamya enkulaakulana y’amaka n’eggwanga.
Senkulu wa Cbs PEWOSA NGO Florence Luwedde akubirizza banabibiina bya CBS PEWOSA okujumbira ebibiina bino okutereka ensimbi, bewole era bekulakulanye.

Mungeri yemu asabye abazadde n’abantu abalala mu maka okusaawk amakubo g’okutegeeragana ku nsonga ezibakosa, okukendeeza ku busambattuko.
Okunonyereza kulaga nti siriimu asaasaana nnyo mu bizinga naddala mu bizinga by’e Ssese, eno abantu 18 ku 100, balina akawuka olw’abantu abawangaalirayo naddala abavubi obutekebeza n’obutakozesa bupiira.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius