Police mu district ye Bukomansimbi mu kiro ekikeseza leero ekutte abantu 2 abateebeezebwa okubeera abajambula ,basangiddwa n’ebissi saako ekimundu ekikolerere.
Abakwate kuliko Kaluhanga Julius mutuuze we Misenyi mu district ye Ssembabule ne Kabakyenga John we Mubende.
Police ewandagazza amasasi mu bbanga okwetakkuluzaako abatuuze ababadde bagala okujisuuza abakwate nti babekolereko.
Babakwatide ku lusozi lw’e Kiryasaaka mu Kibinge mu district ye Bukomansimbi webabadde basudde emisanvu.
Abatuuze basoose kubekengera emisana nga tebabamanyi ku kitundu ate nga baabadde batambula nekikutiya.
Mu kiseera kino bakuumibwa ku police ye Bukomansimbi.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior