
Akatuubagiro kakyali kámaanyi ku muliraano e Kenya; ba commissioner 4 abákakiiko k’ebyokulonda basimbye enjala mu ttaka, bakalambidde nti ebyalangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’okulonda aka Independent Electoral and Boundaries Commission olunaku lwéggulo, nti bya Wafula Chebukati ngómuntu, tebyabadde bya kakiiko kébyokulonda.
Ba Commissioner bano nga bakulembeddwamu omukyala Juliana Cherera, nga era ono yámyuka Ssentebe wákakiiko kébyokulonda mu Kenya, bakkaatirizza nti Ssentebe wákakiiko kébyokulonda Wafula Chebukati; obululu bweyalangiridde nti Ruto bweyafunye okutuuka ku buwanguzi sibutuufu.
Juliana Cherera; agambye nti bwógattagatta ebitundu 50.49% ebyawanguzza Ruto bwebululu 7,176,141 nógattako ebitundu 48.85% ebyalagiddwa nti Raila Odinga bye yafunye bwe bululu 6,942,930, nóbululu obwafuniddwa abalala abaabadde mu lwokaano, nti bwóbugatta awamu busukka mu bitundu 100%.
Abalala abaabadde mu kalulu kano ye prof. George Wajackoyah owa roots party yafunye obululu ebitundu 0.44% ate Waihiga yafunye 0.23%
Ekiwandiiko ba Commissioner kye basomedde ku Serena Hotel mu kibuga Nairobi, bategeezezza nti obululu obwasusseemu bulyéyo mu mitwalo 14 nókusoba, era busobolera ddala okukyusa ebyalangiriddwa eggulo.
Ekirala Bakaminsona bano kye beesigamyeko; banokoddeyo ensobi eyakoleddwa Wafula Chebukati, okuziba abantu amaaso nálangirira nga talaze muwendo gwa bululu obwakubiddwa mu ggwanga lyonna, omuwendo gwóbululu obwafudde nóbululu obwasaziddwamu.
Francis Wanderi omu ku ba kaminsona bano, anokoddeyo ensobi endala gye baakoze; nti bwe bululu obubadde bukyali mu masaza, akakiiko bwe kataabaze nga kagatta obululu.
Mu mbeera eno; ba Kaminsona balangiridde nti olwókuba baalayira okukuuma Ssemateeka wéggwanga obutiribiri, Wafula Chebukati tasobola kubuguyaza Ggwanga obwenkanidde awo.
Ba commissioner abalala ye Irene Masit ne Justus Nyang’aya.
Olunaku lwajjo waabaddewo obunkenke ng’abantu balindirira ebyavudde mu kulonda president w’e Kenya, okwaliwo nga 09 August 2022.
Ba commissioner 4 kwabo 7 abatuula ku kakiiko,webaaviiriddeyo nebategeeza nti baabadde tebakkiriziganya na byabadde bigenda kulangirirwa ssentebe wa IEBC.