By juliet

Minisita Kahinda Otafiire n'akulira poliisi babadde ku palamenti Ekitongole kya poliisi kisabye kiwebwe ensimbi trillion 2 n'obuwumbi 390 mu mbalirira y’omwaka gwebyensimbi ogujja 2022/2023, nti lwekinaasobola okutuukiriza emirimu egisuubirwamu. Mu mbalirira ekyali mu bubage,Ministry ...

Read More

Omwogezi wa Poliisi Fred Enanga Ebitongole byÓkwerinda mu ggwanga biriko abasajja babiri bebikutte ku byekuusa ku bulumbaganyi obwa bbomu, ezaakubwa mu Kampala nezitta abantu abasukka mu 7 omwaka oguwedde. Obutujju buno bwaliwo mu mwezi gwa Museenene (November), abatujju abagambibwa ...

Read More

Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule Abakiise nga basiima Omuteregga olw'okubalambika Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika ng'abuuza ku Katikkiro Charles Peter Mayiga (Ku kkono) Owek.Christopher Bwanika Ssabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ...

Read More

Abakiise mu lukiiko lwa Buganda nga basiima Omutanda Olukiiko lwa Buganda olusoose oluggudeewo olutuula olwa 29,luyisizza ebiteeso bisatu, mwerusiimidde Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw'okubalambika obulungi ku nsonga zonna. Ssaabasajja bweyali aggulawo olukiiko ...

Read More

Owek.Robert Waggwa Nsibirwa ng'ayanjula alipoota mu lukiiko lwa buganda Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde ebimu ku bituukiddwako eby’enkizo mu myezi omukaaga egiyise, okuva mu mwezi gwa Kasambula (July) okutuuka mu Ntenvu (December) 2021, eraze nga wabaddewo okugenda mu maaso, wakati mu ...

Read More

Omwogezi w'amakomera Frank Baine Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni addiddemu abasibe 79 abawadde ekisonyiwo, naalagira bayimbulwe buddemu okulya obutaala. Abasibe abayimbuddwa babadde mu makomera okuli Luzira , Bulawula, Jinja Remand, Bugungu, Masaka,Amita Nyoya, Lira, ...

Read More

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'ayogerera mu lukiiko lwa Buganda olusoose mu mwaka 2022 Obwakaba bwa Buganda buweze nti bwakwongera amaanyi okulwanyisa enguzi n'obulyake ebyeyongedde mu ggwanga. Ssaabasajja Kabaka bweyali aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwe 29, yalagira ...

Read More

Addiridde asembye emabega ye ssabalabirizi eyawummula Luuku Olombi abadde akuuma obulabirizi bwe Nebbi Ssabalabirizi w'ekanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu Mboowa, atuuzizza Rev Pons Ozelle ku ntebe y’obulabirizi bwe Nebbi ku mukolo oguyindidde mu kkanisa ...

Read More

Omukulembeze w'e ggwanga era omudduumizi w'eggye ly'eggwanga owokuntikko Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa alinnyisa amadaala abajaasi ba UPDF 527. Kuliko abajaasi basatu ababadde ba lefutinanti kanno kati bafuuse ba kanno abajjuvu. Abasatu bano ye Benard Tugume,Steven Neliko ne ...

Read More

Abazinnya mwoto bazikiza omuliro ku kkolero lya Hima Abakozi basatu bakakasiddwa nti bafiiridde mu nnabbambula w'omuliro akutte ekkolero lya sementi e Kasese erya Hima cement. Abalala mukaaga baddusiddwa mu ddwaliro ng'embeera yabwe mbi ddala. Omuliro gukutte mu ttuntu lya leero, nga ...

Read More