Police e Kawempe etandise okunoonyereza ku agambibwa okuba omusirikale w’eggyrle lya UPDF avudde mu mbeera nákuba omugoba wa Bodaboda amasasi agamutiddewo, ku ssomero lya Kawanda SS mu District eye Wakiso.
Okusinziira ku Police omusajja ategerekese nga ye Ssali Abdul abadde avuga mmotoka ya UPDF No. H4DF 1939 abadde agenze okukima omwana ku ssomero lya Kawanda SS, bwabadde afuluma ekikomera kye ssomero lino, emmotoka mwabadde atambulira ekika kya Land Cruiser nenyiga omugoba wa Bodaboda ategerekese nga ye Waliggo Ronald ekireseewo okuwanyisiganya ebisongovu.
Waliggo myaka 38 mutuuze wé Kirinnyabigo Kawanga mu Wakiso, ngábadde avuga pikpiki Bajaj boxer UEG 721.
Kigambibwa nti Ssali Abdul asoose kubalabula nti bamwesonyiwe sikulwa ng’abakuba amasasi, amangu ago n’aggyayo emmundu kika kya AK47 nakuba owa bodaboda amasasi agamuttiddewo.
Amyuka Omwogezi wa Police mu Kampala ne miriraano Luke Owoyesigire agambye nti Ssali Abdul olumaze okukuba owa bodaboda amasasi nadduka,wabula police esobodde okukozesa camera nezuula ennamba ya mmotoka mwabadde, nti wabula bakukwatagana ne UPDF okuzuula omuntu ono ateberezebwa okuba munnamagye.
Bisakiddwa: Ssebuliba William