Police mu district ye Bukomansimbi ekutte era neggalira Johnson Ssabbiiti myaka 50, oluvannyuma lw’okweroopa ku police neyewaako obujulizi nti yasse muganziwe.
Omusajja ono agambye nti yasse Nakibuule Betty we ow’emyaka 20, omulambo naagusuula mu mugga.

Annyonyodde nti muganziwe okumutta yamulanze kugaana kumuzaalirayo mwana, nti ng’ate amutaddemu ensimbi nnyingi.

Police egenze ku mugga musajja mukulu gy’agiragiridde n’eggyayo omulambo.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior