Ttiimu y’eggwanga lya Argentina esitukidde mu mpaka z’ensi yonna ez’omupiira ogw’ebigere eza FIFA World Cup 2022, ezibadde ziyindira e Qatar bw’ekubye France goolo 4-2 ezibadde ez’okusimulagana peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 3-3 mu ddakiika 120.
Omupiira guno ogubaddeko n’obugombe guzanyiddwa mu kisaawe kya Lusail Iconic Stadium, wakati mu nduulu ya bawagizi ba ttiimu zonna abajjuza ekisaawe kino.
Goolo za Argentina mu dakiika 130 ziteebeddwa captain Lionel Messi atebyeko goolo 2 ne Angel Di Maria atebyeko goolo 1 ate nga eza France zonna 3 ziteebeddwa Kylian Mbappe.
Argentina ewangudde ekikopo kino omulundi gwayo ogw’okusatu, nga yasooka kuziwangula mu 1978 ne 1986.
France esigadde n’ebikopo byayo 2 bye yawangula mu 1998 ne 2018, era France yakalemerwa okuwangula ekikopo emirundi 2 nga etuuse ku final.

Empaka za FIFA World Cup eziddako zigenda kubeera mu America, Canada ne Mexico mu 2026, era zakwetabwamu amawanga 48 okuva ku 32 agetabye mu mpaka z’omwaka guno 2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe