Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda mu Arua ku lutindo lwe Pakwach, amazzi gabuuse olutindo mu kitundu kye Olwiyo.
Abasaabaze abava e Kampala wamu naabava mu Kibuga Arua tebasobola kubuuka lutindo.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga nga kiyita mu w’ebyempuliziganya Allan Ssempebwa, kisabye abasaabaze abaagala okugenda mu Arua nga bava Kampala ne Lira bakozese oluguudo lwe Gulu ne Adjumani, oba bakozese ekidyeri kye Laropi kibatwaale e Moyo, olwo boolekere Arua.
Ssempeebwa asabye abasaabaze abava mu Kibuga Arua ne Pakwach okukozesa oluguudo lwe Paraa – Masindi, olwo basobole okutuuka mu Kibuga Kampala, nga ekitongole kyebyenguudo bwekisala amagezi okutereeza Olutindo lwe Pakwach.
Bisakiddwa: Kato Denis