
Ssaabasumba w’Abathodox Jeronymos Muzeeyi asabye government okukola enteekateeka y’okuwa amalwaliro ga districts ebyuma ebikuuma omusaayi kisobozese abalwadde okugufuna mu budde.
Ssaabasumba Muzeeyi abadde aggulawo enteekateeka y’okugaba omusaayi mu gombolola ya Mumyuka Kalamba mu Ssaza Butambala.
Yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okukulemberamu kawefube w’okutumbula eby’obulamu mu ggwanga.
Mu ngeri yeemu Omubaka wa ppaapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja yeyatongozezza okugaba omusaayi mu gombolola ya Ssabawaali Bulo mu ssaza Butambala nasaba abavubuka okubeera abasaale mu nteekateeka z’eby’obulamu.

Omwami wa Kabaka ow’e ssaza Butambala Haji Katambala Sulaiman asiimye Obwakabaka omusingi gw’obwakabaka kwebuzimbira abavubuka ogwa Nkobazambogo, nagamba nti kibayambye okukula nga bamanyi kyebalina okukola era asabye abantu okukoma okukola ebintu mu nkola eya kiyita mu luggya.
Ssenkulu we kitongole kya Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala agambye nti ebitongole n’abantu kinnoomu betegefu okwenyigira mu by’obulamu, singa government nayo etuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo.
Olunaku olwenkya olwokuna okugaba omusaayi kwakubeera mu Gombolola ya Musaale Budde mu bitundu okuli Kyabaddaaza A,Kyabaddaaza B, Makulungu ,Kibuga Trading Center newalala.
Bisakiddwa: Nakato Janefer