Amasasi gamyose nábantu abawerako battidwa ku kyalo Kalotwo mu Gombolola ye Lolelia mu District ye Kaboonga, Amagye g’eggwanga aga UPDF agakwasibwa omulimu ogwókukuuma emirembe mu bitundu bye Karamojja, nga galwanagana nábakwata muntu ababadde bagezaako okunyagulula ebiraalo bye nte mu kitundu kino.
Abazigu bano ababadde mu kibinja nga babagalidde emmundu, amajjambiya n’ebissi ebirala, basangiddwa lubona nga bayingidde ebiraalo eby’enjawulo ku kyalo kino, wano webatandikidde okuwanyisiganya amasasi nábajaasi ba UPDF.
Omwogezi w’amagye ga UPDF ekibinja eky’okusatu Major Isaac Oware ategezezza nti abamu ku nanyazi battiddwa ate abalala bakwatiddwa.
Mubakwatiddwa kuliko ne muganda wa ssentebe w’e Gombolola ye Kacheri mu District ye Kotido, era nga yagenda okubayambako mu kunonyereza okuzuula abazigu abalala ababadde mu lukwe luno.
Bisakiddwa: Ssebuliba William