Munnayuganda Ali Mulumba Tumusange, ye ddifiri eyasooka era akyasembyeyo okulamula mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna eky’omupiira ogw’ebigere ekya FIFA World cup.
Ali Timusange nga yanyuka dda okulamula endiba, ajjukirwa nnyo okulamula mu mpaka za World Cup eza 2002 ezaali e South Korea ne Japan.
Mu mpaka ezo Ali Tomusange yagendanga omuwuubi w’ekitambala, era ajjukirwa nnyo okutta goolo y’omuteebi Fernando Morientes owa Spain bwebaali battunka ne South Korea ku mutendera gwa quarterfinals.
Oluvanyuma lwa Ali Tomusange okutta goolo eyo, waaliwo okuwanyisiganya ebisongovu wakati wa Tomusange ne Fernando Morientes.
Ali Tomusange yoomu ku bbadifiri abatono abaalamula abaatuuka ku mutendera ogwa ‘knockout’, ra yamalako empaka ezo nga alamudde emipiira 4 okwali Turkey ne China, South Korea ne America saako ogwa Spain ne Slovenia.
Edward Kenneth Bukenya yeyali munnauganda eyali agenda okusooka okulamula mu mpaka za World Cup eza 1982 ezaali e Spain, yafa nga empaka zino zibindabinda okutandika.

Ali Tomusange yatandika okulamula omupiira mu 1987 era nafuna budge ya FIFA mu 1993.
Mu kiseera kino akola omulimu ogw’okubangula baddiifiri ba FUFA, CAF ne FIFA ate n’okuyambako ttiimu y’ekika kye eky’Omusu mu byekikugu.
Abategesi b’empaka z’omwaka guno 2022 aba Qatar bebagenda okuggulawo empaka zino nga battunka ne Ecuador nga 20 omwezi guno ogwa November.
World cup egenda kuweerezebwa butereevu ku radio CBSFM, ne ku youtube CBSFM official.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe