Akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Mathias Mpuuga Nsamba, nnampala w’oludda oluvuganya John Baptist Nambeshe n’ababaka abalala balambudde ku bannaabwe; Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana mu kkomera e Kigo gyebakulungudde kati omwaka mulamba.
Mpuuga yennyamidde ku ngeri eyakasoobo essiga eddamuzi gyerikuttemu ensonga z’ababaka bano.
Mu ngeri yeemu avumiridde ekya government okulemesa ababaka okufuna obujjanjabi obutuufu ku bulwadde obubalumira mu kkomera
Mpuuga agambye nti kiraga obutali bugunjufu n’okutyoboola ebiragiro bya kkooti eyalagira ababaka bakkirizibwe bafune obujjanjabi ebweru w’ekkomero, wabula nga n’okutuusa kati tekissibwanga mu nkola.
John Baptist Nambeshe agambye nti wadde ababaka bakyali mu kkomera nga n’embeera yaabwe ey’obulamu teyeeyagaza, naye nti bakyali bagumu.
Allan Ssewannyana omubaka wa Makindye West ne Muhammad Ssegiriinya owa Kawempe North baakwatibwa nebaggulwako emisango gy’okutemaatema abantu mu bbendobendo ly’e Masaka naddala mu bitundu by’e Lwengo, obutujju, okuvujjirira ebikolwa eby’ekitujju n’emirala.
Bannamateeka babwe bazze balaajanira kkooti bayimbulwe ku kakalu, wabula olumu kkooti lweyabawa akakalu, ebweru tebaabugumyayo na mbooge nebabayoola buto n’okutuusa kati bali mu kkomera.
Mu butongole emisango gyabwe gyatandika okuwulirwa, era abamu ku bajulizi governem beyaleeta okubalumiriza, beesimba bwantoogo mu kkooti nebeegaana okubaako kyonna kyebamanyi ku nsonga zino.
Bano balumiriza ebitongole byebyokwerinda okubatulugunya nga babakuba bakkirize ku buwaze nti ebikolwa by’ebijambiya balina kyebabimanyiiko, nti era ababaka Ssewannyana ne Ssegiriinya nti bebabavujjiriranga okutemaatema abantu n’okubatuusaako ebisago.
Werutuukidde olwaleero ng’omusango guno gwayimiriramu oluvannyuma lw’omulamuzi eyaguli mu mitambo okukyusibwa ne guweebwa omulala.
Abakyala b’ababaka, ab’enganda n’abalonzi baabwe balaajanidde kkooti ebataase eyimbule abantu baabwe, wabula eddoboozi lyabwe terinnawulirwa.
Jjuuzi waliwo n’abamu ku baagamba nti balonzi b’e Makindye West abeekalakaasa nga n’abamu baatuuka n’okwesiba enjegere nga babanja omubaka wabwe, wabula nakyo tekyakola.
Ba puliida baabwe nga bakulembeddwamu Loodi Mmeeya Ssaalongo Erias Lukwago bagamba nti sibaakussa mukono okutuusa ng’abantu babwe bafunye obwenkanya.
Bisakiddwa: Achileo Kamulegeya K