AKULIRA AKABINJA AKEKUTULA KU ADF AKWATIDDWA

Ronald Kakulungu ayogerera UPDF

Amawulire agafubutuka mu ddwaniro e Congo galaze nti omu kubabadde bakulembera akabinja k'abayeekera akeekutula ku ADF ayitibwa Benjamin Kisokolani akwatiddwa.

Kisokolani ne banne nabo amakanda bagasimbye mu bibira ebikwafu ebye Congo.

UPDF yagenda ku Congo mu mwezi ogwe 11 omwaka oguwedde 2021 nga egamba nti wenaaviira mu Congo nga abayekera bonna ebamazeeyo.

Abamu bazze battibwa,abalala bakwatibddwa nabandi bewaddeyo mu mikono gy√°magye.

Omwogezi w'eggye ly'e ggwanga erya UPDF Lt Col Ronald Kakulungu ategezezza cbs FM, nti okumanya Kisokolani abadde mukambwe abadde yekutula ne ku banne aba ADF nga yakola akabinja kabayeekera akake aketongodde wabula ng'ebigendererwa bye bimu.

Kigambibwa nti Kisokolani aliko abayeekera abaamwegattako nebekutula ku kibiina kya ADF ekyakulirwanga Jamir Mukulu.