
Ssanyu jjereere mu bakristu b’essaza Kiyinda Mityana, olw’ekkula lyebaafunye ery’abaana babwe 4 Abadyankoni okufuna Essaakalamentu lya Olodiini, nebafuuka abasasorodooti.

Omukolo gw’okuwa Obusasolodooti gwakulembeddwamu Omusumba w’essaza lya Kiyinda era ssentebe w’olukiiko lw’Abepisikoopi mu Uganda Rt. Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa mu lutikko y’Omutuukirivu Noa Mawaggali.
Abasasolodooti bano bayimbye missa zabwe ezisookedde ddala mu maka ga bakadde babwe mu bigo ebyenjawulo.
Abasasolodooti abaggya kuliko, Rev Fr. Francis Xvier Ssekayombya, Rev Fr. Bonny Kakinda nga bombi baavudde mu kigo ky’e Bukalagi mu Gomba , Rev Fr. Timothy Katende avudde mu kigo ky’e Maddu mu Gomba wamu ne Rev Fr. Muyombya Vincent okuva mu kigo ky’e Katente.
Bweyabadde ayigiriza mu Mmisa y’okubawa obusasolodooti, Bishop Joseph Anthony Zziwa yabuulidde ba Ffaaza abagole okwagala n’okunywererea mu kuyitibwa kwabwe, ate baweereze n’okwagala abantu ba Katonda yonna gyebanaaweerereza.
“Ku lunaku luno, Omukama abeerobozza, n’abalonda okukulemberamu abantube mu butuukirivu, mumuweereze awatali kwemulugunya newankubadde waliwo okusoomoozebwa kw’embeera, naddala obwavu n’okwekanama kw’ebbeeyi y’ebintu mu ggwanga lyaffe, yabalonze nga byonna abimanyi, Awonno okukkiriza kwammwe kwonna mukuteeke mu ye”.
Mu mmisa yeemu Bishop Zziwa aliko n’Abasebinaaliyo beyasuumusizza emiruka, nga kukiko 7 yabawadde Obudyankoni n’abalala 7 n’abawa Omuluka gw’obuweereza n’obusomi.
Bishop Zziwa yeebazizza abazadde n’abakristu okuyamba ennyo abasebinaaliyo okutuukiriza okuyitibwa kwabwe, nga babasasulira ebisale by’essomero yonna gyebasomedde.

Mu ngeri ey’enjawulo Omusumba Zziwa yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima n’amuwandiikira Ebbaluwa okumwebaza okwenyigira mu nteekateeka zonna ez’Obwakabaka, naddala okukunga abantu okuwaayo Omusaayi.
“Nnafunye ebbaluwa okuva Ew’Omutanda Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, yampandiikidde ebbaluwa mu mukono gwe, ng’atwebaza okwenyigira mu kaweefube w’okukungaanya omusaayi eyali mu Ssingo, n’essaza lyonna okutwalira awamu.
Era n’antegeeza nti ekitongole kya America ekivunaanyizibwa ku by’omusaayi ekya International Divisions of Blood Centers mu Arizona America nti kyatuwa engule eyitibwa Partners of the Year 2022”
Omukolo gwetabyeko abakristu bangi ddala okuva mu bigo byonna 31 ebikola essaza lino erya Kiyinda Mityana n’okuva mu masaza agetooloddewo, naddala agagwa mu ttwale lya Kampala Ecclesiastical Province.
Bisakiddwa: Achileo Kamulegeya Kiwanuka