
Mu mawulire agémpuna; kkampuni ekola emifaliso etegese empaka ez’okunoonya ba kafulu mu kwebaka otulo ne beerabira nébifa munsi.
Empaka zino ezituumiddwa Casper Sleepers, zitegekeddwa kkampuni ya Casper emu ku zisinga okukola emifaliso mu kibuga New York ekya Amerika, era abaneetaba mu mpaka ezo bagenda kusasulwanga buli lunaku.
Mu mpaka zino; Ssaabafuluusi oba Nnaabafuluusi wótulo agenda kwewangulira omulimu mu kkampuni eyo, naye nga era ku mulimu bamukkirizza nti ajja kutuukanga wáyagalira.
Kampuni tegenda kutaataaganya kitone kye eky’okwebaka.
Bya: Joshua Musaasizi Nsubuga