Mu mawulire agémpuna; Musajjamukulu e Buyindi yeesozze olubu lwábasajja abeddira amazzi; bwekizuuse nti amaze emyaka 22 nga tanaaba.
Dharamdev Ram owémyaka 62 mu kibuga Bihar ekya Buyindi, yalayira eri mukazi we mu mwaka gwa 2000; nti tagenda kuddayo kukwata ku bbaafu, sabbuuni oba amazzi kunaaba okutuusa nga ebikolwa omuli ekibbattaka, okutulugunya abakazi nókutta ebisolo ebitalina musango biweddewo mu ggwanga eryo.
Ebyembi mukyala we yafa waakayita emyaka 3, okuva lweyasalawo obutaddamu kunaaba.
Wabula Ram yakuuma ekisuubizo kye ekyóbuteeriraanya kunaaba, era ti mwetegefu okufa nga omubiri gwe teguzzeemu kugendako ttondo lya tuzzi kakubeere okukubwa enkuba.
Musajjamukulu Ram kati yeegasse ku basajja abasingayo okuwunya ku mutendera gwénsi yonna; okuli kinvinvi owémyaka 87 munsi eya Iran, amaze emyaka 67 ng’omubiri gwe tegugenzeeko ttondo lya tuzzi.
Bya: Joshua Musaasizi Nsubuga