Ssenkulu w’ekitongole ekya Giant Company Ltd Opua Alex Emongas asindikiddwa mu nkomyo e Luzira, kigambibwa nti yanyaga government ensimbi obuwumbi butaano
(shs 5b).
Omulamuzi wa kkooti ento ewozesa abalyake nábakenuzi Moses Nabende yaamusindise e Luzira okutuusa nga 2nd August 2022, lwanakomezebwawo okuwuliriza okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Opua Alex Emongas yakwatiddwa kaliisoliiso wa government, ku bigambibwa nti yafera ekitongole kya NAADS ensimbi ezisukka mu buwumbi bwa shilling 5.
Okusinziira ku ludda oluwaabi, wakati w’emyaka gyebyensimbi 2014/ 2015 ne 2017/ 2018 Emongas yaweebwa omulimu mu kitongole ki NAADS okuwa District ye Nebbi ne Zombo endokwa zámajaani, era naaweebwa obuwumbi bwa shs 5 nómusobyo, wabula kigambibwa nti teyawaayo ndokwa neemu.