Ekkanisa y’abadiventi mu Uganda ekoze enkyukakyuka mu balabirizi, n’abakulu abalala abaddukanya emirimu gy’obulabirizi okuli abateesiteesi n’abawanika, wamu n’okujjuza ebifo ebyasigalira ku kitebe ky’obwa Ssaabalabirizi.


Mu lusirika lw’abasumba n’abakadde b’ekkanisa olubumbujjidde ku Imperial Botanical Beach Hotel Entebbe, Obulabirizi 6 bufunye enkyukakyuka mu babukulembera.
Obulabirizi bwa Central Uganda Conference e Kireka bwo bwakujjuzibwa mu mwezi ogwa January 2023.

Mu nkyukakyuka ezikoleddwa, omulabirizi wa South Western Uganda Mission e Mbarara ye Musumba Edward Muwanga, owa Mid-Western Uganda Field e Fort Portal ne Musumba Richard Rusoke.


Omulabirizi owa West-Buganda Field e Mityana ye Musumba Lubwama Godfrey ng’ono abadde ku kitebe ky’obwa Ssaabalabirizi, era azze mu bigere by’omusumba Daniel Ssennuuni.
Omusumba Ssimwogerere David asigadde ye mulabirizi wa North Buganda Field e Luweero, era ne Ttiimu ye yonna esigaddewo tekyusiddwa.

Omusumba Paul Mumbere abadde akulira eby’amakomera ku bwa Ssaabalabirizi, kaakano ye mulabirizi Omuggya owa Rwenzori Field e Kasese, Songa owa Northern Uganda Field e Lira ye Musumba Luke Isile.


Omusumba Jeremiah Alisengewa abadde Omuteesiteesi Omukulu ow’obulabirizi bwa Central Uganda Conference e Kireka, akyusiddwa kati ye mulabirizi wa Eastern Uganda Field e Jinja ne Mbale, Songa Omusumba Anatoli Mugenyi kati ye Mulabirizi wa Western Uganda Field e Hoima.
Bisakiddwa: Joshua Musaasizi Nsubuga