Abeddira Enkima nga bakulembeddwamu Omutaka omukulu ow’akasolya Omutaka Mugema Charles Mugwanya Nsejjere, basabidde ekika kyabwe, Ssaabasajja Kabaka, Obwakabaka, n’abazzukulu abaafa n’ebirala.

Emmisa ey’ekitiibwa ekulembeddwamu omuzzukulu Rev Fr Anthony Musaala ng’ayambibwako abazzukulu abalala okubadde Rev Fr Achilles Mayanja Ssali n’abalala.

Bwabadde ayigiriza , Rev Fr Anthony Musaala asabye ba jjajja ba Buganda okutwala ekikolwa kino mu maaso, kyagambye nti kibayamba okumanyagana, okukuuma obumu n’okusonyiwagana.
Omutaka Omukulu ow’ekika ky’Enkima Mugema Charles Mugwanya Nsejjere asabye abazzukulu okwongera okwagala ekika kyabwe n’okukiwagira mu nteekateeka zaakyo zonna naddala ez’enkulaakulana.
Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko alangiridde nti okusabira ekika okuddako kwakutegekerwa ku Muzikiti omukulu e Kibuli omwaka ogujja 2023.
Okusaba kuno kwetabiddwamu Nnamasole Damalie Nantongo Muganzi ab’amasiga, ab’emituba, ab’ennyiriri, empya, n’abazzukulu bangi ddala.
Minister w’ebyenjigiriza, abakyala, ekikula ky’abantu, ebyobulamu ne office ya Nnaabagereka Owek Prosperous Nankindu Kavuma akulembeddemu enteekateeka eno, yeebazizza abazzukulu abazze mu bungi n’okuwagira emirimu gy’ebika.
Mu ngeri eyenjawulo abazzukulu basonze ensimbi ezisobye mu bukadde munaana okudduukirira omulimu gwokumaliriza ekkakkalabizo ly’ekika.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.