Abakulembeze n’abakulira eby’obulamu mu gombolola ye Ngogwe mu district ye Buikwe, balagidde abasawo b’okubyalo okufulumya enkalala z’abatuuze bonna mu byalo abatalina kabuyonjo, batwalibwe mu kooti.
Enkola eno egenda kutandikira mu muluka gwe Kiriingo ku byalo Bbogo,Kamuli Lugomba, Kikutu ne Kasi.
Ddamulira Christopher omusawo atwala eby’obulamu mu ggombolola ye Ngogwe, agambye nti boogedde bakooye, kqti ekiddako kutwala bantu abalina kabuyonjo bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka olw’okusaasaanya endwadde eziva kukusaasaanya empitambi.
Wabula abamu ku batuuze bagamba nti basanga okusoomozebwa, olw’abantu abasima ebinnya bya kabuyonjo nti tebakyalabika, so nga n’abamu ababeera balabise basimako kitono tebabimaliriza.
Ssentebe w’e ggombolola ye Ngogwe Mbalule James asinzidde Bbogo n’agugumbula ba Sentebe be byalo n’abatuuze abesisigiriza okugenda mu nkiiko eziyitibwa ku byalo, nebatagoberera nteekateeka zikolebwa.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher